1 Samuel 1:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anna yali ayogera mu mutima gwe, emimwa gye gyokka nga gye gyenyeenya, naye ng'eddoboozi lye teriwulikika. Eli n'alowooza nti atamidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaana yali asaba mu kasirise, ng’emimwa gye ginyeenya, naye nga eddoboozi lye teriwulikika. Eri n’alowooza nti atamidde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kaana yasabira mu mutima gwe; emimwa gye, gye gyenyenya naye ebigambo bye tebyawulikika; Eri kyeyava alowooza nti atamidde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Hanna yasabiranga mu mutima gwe, emimwa gye nga gyenyeenya, naye eddoboozi lye nga teriwulikika. Eli kyeyava alowooza nti omukazi atamidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Kaana yayogera mu mwoyo gwe; emimwa gye gye gyatoobera, naye eddoboozi lye teryawulikika. Eri kyeyava alowooza nti atamidde.