1 Samuel 1:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anna n'ayanukula n'agamba nti: “Si ky'ekyo, ssebo, wabula mukazi wattu nkabiriddwa mu mwoyo. Sinywedde vviini oba ekitamiiza ekirala kyonna, wabula omutima gwange gwe mbikkulidde Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Kaana n’amuddamu nti, “Si bwe kiri mukama wange; nze ndi mukazi ajjudde ennaku. Sinnanywa ku wayini newaakubadde ekitamiiza ekirala; mbadde nkaabira Mukama Katonda mu mmeeme yange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kaana n'addamu n'ayogera nti, “Nedda, mukama wange, nze ndi mukazi alina omwoyo ogunakuwadde; sinywedde mwenge newakubadde ekitamiiza, naye mbadde nyanjulira Mukama enaku eri ku mutima gwange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Hanna n'amuddamu nti: “Nedda, mukama wange, ndi mukazi anakuwadde mu mwoyo. Sinywedde mwenge, wadde ekitamiiza ekirala kyonna. Mbadde nnyanjulira Mukama, ennaku endi ku mwoyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kaana n'addamu n'ayogera nti Nedda, mukama wange, nze ndi mukazi alina emwoyo ogunakuwadde: sinywedde mwenge newakubadde ekitimiiza, naye nfuse ebiri mu mmeeme yange mu maaso ga Mukama.