1 Samuel 1:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuzaana wo tomuyita mukazi mutamiivu; obwedda neegayirira wano n'okutuusa kati olw'obulumi bwange n'ennaku ebingi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuweereza wo tomulowooza okuba omukazi ow’ekyejjo, kubanga mbadde nsindira Mukama ennaku n’obuyinike bwange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tolowooza nti ndi mukazi ataliimu nsa, naye mu kwemulugunya kwange okusukkiridde ne mu kunyiiga kwange mwe nsizide okwogera okutuusa kaakano.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tolowooza nti nze omuweereza wo ndi mukazi ataliimu nsa. Mu buyinike bwange obunsukkiridde, ne mu kunyiiga kwange, mwe nsinzidde okwogera okutuusa kaakano.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Toyita muzaana wo muwala wa Beriali: kubanga mu kwemulugunya kwange okusukkiridde ne mu kunyiiga kwange mwe nnyimye okwogera okutuusa kaakano.