1 Samuel 1:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'amugamba nti: “Singa nno omuzaana wo asanze ekisa mu maaso go!” Omukazi n'agenda amakubo ge; n'alya ku mmere, era amaaso ge tegaddayo kulaga nnaku.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ayogera nti, “Omuweereza wo alabe ekisa mu maaso go.” Oluvannyuma ne yeetambulira, n’alya ku mmere, n’atandika okutunula n’essanyu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kaana n'amuddamu nti, “Weebale kunjagaliza mukisa nze omuzaana wo.” Awo Kaana n'addayo n'alya n'ataddayo kunakuwala nate.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Hanna n'agamba nti: “Weebale kunjagaliza mukisa, nze omuweereza wo.” Awo omukazi ne yeddirayo, n'alya, n'ataddamu kunakuwala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti omuzaana wo alabe ekisa mu maaso go. Awo omukazi ne Yeddirayo, n'alya, amaaso ge ne gatatokooterera lwa kubiri.