1 Samuel 1:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baazuukuka ku makya, ne basinza mu maaso g'Omukama, oluvannyuma ne baddayo ewaabwe mu Rama. Elukana ne yeebaka ne mukazi we Anna; Omukama n'amujjukira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Erukaana n’ab’ewuwe ne bagolokoka enkeera mu makya ne basinza Mukama, n’oluvannyuma ne baddayo ewaabwe e Laama. Ne yeetaba ne mukazi we Kaana, Mukama Katonda n’amujjukira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Erukaana n'ab'omu nnyumba ye ne bazuukuka enkya ku makya, ne basinza mu maaso ga Mukama ne baddayo eka, ne bayingira mu nnyumba yaabwe mu Laama. Erukaana ne yegatta ne mukazi we Kaana; Mukama n'amujjukira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo enkeera mu makya Elukaana n'ab'omu nnyumba ye ne bazuukuka, ne basinza Mukama ne baddayo ewaabwe, ne batuuka mu nnyumba yaabwe e Raama. Elukaana ne yeegatta ne Hanna mukazi we, Mukama n'ajjukira Hanna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bagolokoka enkya mu makya, ne basinza mu maaso ga Mukama ne baddayo eka, ne batuuka mu nnyumba yaabwe mu Laama: Erukaana n'amanya Kaana mukazi we; Mukama n'amujjukira.