1 Samuel 1:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yalina abakazi babiri; omu nga ye Anna, owookubiri nga ye Peninna. Peninna yalina abaana, ye Anna nga talina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yalina abakyala babiri, omu nga ye Kaana; n’omulala nga ye Penina. Penina yalina abaana, naye Kaana nga mugumba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Erukaana yalina abakazi babiri; omu erinnya lye nga ye Kaana, n'omulala erinnya lye nga ye Penina; era Penina yalina abaana, naye Kaana teyalina baana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Elukaana yalina abakazi babiri: Hanna ne Penina. Penina yalina abaana, naye Hanna teyalina.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era yalina abakazi babiri; omu erinnya lye nga ye Kaana, n'omulala erinnya lye nga ye Penina: era Penina yalina abaana, naye Kaana teyalina baana.