1 Samuel 1:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Elukana bwe yayambuka n'ennyumba ye yonna atambirire Omukama ekitambiro ekya buli mwaka, n'okutuukiriza obweyamo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Erukaana n’ayambuka n’ab’ennyumba ye okugenda okuwaayo ssaddaaka eri Mukama Katonda n’okutuukiriza obweyamo bwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omusajja Erukaana n'ab'omunnyumba ye bonna ne bagenda nate okuwaayo ssaddaaka eya buli mwaka eri Mukama n'okutuukiriza obweyamo bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omusajja oyo Elukaana n'agenda nate n'ab'ennyumba ye okuwaayo eri Mukama ekitambiro ekya buli mwaka, era n'okutuukiriza kye yeeyama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omusajja Erukaana n'ennyumba ye yonna ne balinnya okuwaayo ssaddaaka eya buli mwaka eri Mukama n'obweyamo bwe.