1 Samuel 1:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anna teyayambuka; naye n'agamba bba nti: “Omwana bw'aliva ku mabeere, ndimutwala ne mmwanjula mu maaso g'Omukama, asigalire ddala eyo ebbanga lyonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Kaana teyagenda nabo. N’agamba bba nti, “Omwana bw’aliva ku mabeere, ndimutwala ne mulagayo eri Mukama Katonda, era alibeera eyo ennaku ze zonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Kaana ye n'atagenda kubanga yagamba nti, “Sijja kugendayo okutuusa omwana lw'aliva ku mabeere, ne ndyoka mmutwala mu maaso ga Mukama, abeerenga eyo ennaku zonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Hanna n'atagenda, kubanga yagamba bba nti: “Sijja kugendayo okutuusa ng'omwana avudde ku mabeere, ndyoke mmutwale mmwanjule mu maaso ga Mukama, abeerenga eyo ennaku zonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Kaana n'atalinnya; kubanga Yagamba bba nti Sijja kulinnyayo okutuusa omwana lw'aliva ku mabeere, ne ndyoka mmutwala alabike mu maaso ga Mukama, abeerenga eyo ennaku zonna.