1 Samuel 1:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bba Elukana n'amugamba nti: “Kola nga bw'osiimye; sigala okutuusa omwana lw'onoomuggya ku mabeere; nsaba kimu kyokka, Omukama atuukirize ekigambo kye.” Omukazi n'asigala awaka, n'ayonsa omwana we okutuusa lwe yamuggya ku mabeere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Erukaana n’amuddamu nti, “Kola nga bw’osiima. Linda okutuusa lw’olimala okumuggya ku mabeere; Mukama Katonda atuukirize ekigambo kye.” Awo omukyala n’asigala eka, n’alabirira omwana okutuusa lwe yava ku mabeere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Erukaana bba n'amugamba nti, “Kola nga bw'oyagala; beera wano okutuusa lw'olimala okuggya omwana ku mabeere era Mukama atuukirize byeweyama.” Awo omukazi n'abeera awo n'ayonsa omwana okutuusa lwe yamuggya ku mabeere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Elukaana, bba, n'amugamba nti: “Kola ky'olaba nga kye kisinga obulungi, olinde okutuusa lw'olimuggya ku mabeere. Kyokka Mukama anyweze ekigambo kye.” Awo omukazi n'asigala, n'ayonsa omwana we okutuusa lwe yamuggya ku mabeere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Erukaana bba n'amugamba nti Kola nga bw'osiima; beera awo okutuusa lw'olimala okumuggya ku mabeere; kyokka Mukama anyweze ekigambo kye. Awo omukazi n'abeera awo n'ayonsa omwana okutuusa lwe yamuggya ku mabeere.