1 Samuel 1:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwana olwava ku mabeere, Anna n'ayambuka naye e Silo; yatwala ente ennume ya myaka esatu n'efa ssatu ez'obuwunga, n'endyanga y'evviini; n'amuleeta mu Nnyumba y'Omukama mu Silo. Omwana yali akyali muto.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yava ku mabeere, n’amutwala mu yeekaalu ya Mukama Katonda e Siiro ng’akyali muto; ne batwala ente ssatu ennume, n’endebe ey’obutta, n’eccupa y’envinnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yamuggya ku mabeere, n'amutwala ng'alina ente ssatu, ne efa emu n'ensawo ey'eddiba ejjudde omwenge, n'amutuusa mu nnyumba ya Mukama mu Siiro; naye omwana yali akyali muto.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yamuggya ku mabeere, n'amutwala wamu n'ente ssatu, n'ekisero kimu eky'obuwunga bw'eŋŋaano, n'ensawo y'eddiba ejjudde omwenge, n'amuleeta ng'akyali muto e Siilo, mu nnyumba ya Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yamala okumuggya ku mabeere, n'amutwala n'agenda naye n'alinnya, ng'alina ente ssatu, ne efa emu ey'obutta, n'ekita eky'omwenge, n'amutwala mu nnyumba ya Mukama mu Siiro: era omwana yali muto.