1 Samuel 1:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anna n'agamba Eli nti: “Ssebo, mazima ggwe ng'oli mulamu, nze mukazi oli eyayimirira mu maaso go wano nga nsaba ew'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaana n’ayogera nti, “Nga bw’oli omulamu mukama wange, nze mukyala oli eyayimirira okumpi naawe, ne nsaba Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amugamba nti, “Ayi mukama wange, nga bw'oli omulamu, nze mukazi oyo eyayimirira w'oli wano, nga nsaba Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Hanna n'agamba nti: “Ayi mukama wange, wangaala! Mukama wange, nze mukazi eyayimirira wano mu maaso go, nga nsaba Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amugamba nti Ai mukama wange, nga bw'oli omulamu, mukama wange, nze ndi nukazi oyo eyayimirira w'oli wano, nga nsaba Mukama.