1 Samuel 1:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nange kyenvudde mmuwa Omukama; ennaku zonna ez'obulamu bwe aweereddwa ew'Omukama.” Ne basinziza Omukama mu kifo ekyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano mmuwaayo eri Mukama, era obulamu bwe bwonna aweereddwayo eri Mukama Katonda.” Omwana n’asinzizanga Mukama Katonda eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nange kyenvudde mmuwaayo eri Mukama; ng'akyali mulamu.” Kaana n'asinziza eyo Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nange kyenvudde mmuwaayo eri Mukama.” N'asinziza eyo Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nange kyenvudde mmuwaayo eri Mukama; ng'akyali mulamu aweereddwayo eri Mukama. Ye n'asinziza Mukama eyo.