1 Samuel 1:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusajja ono, buli mwaka yavanga mu kibuga kye n'ayambuka, asinze n'okutambirira Omukama w'Amagye mu Silo. Eyo waaliyo bakabona b'Omukama babiri, Kofuni ne Finekasi, bombi nga batabani ba Eli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli mwaka omusajja oyo yayambukanga okuva mu kibuga ky’ewaabwe okugenda okusinza n’okuwaayo ssaddaaka eri Mukama ow’Eggye e Siiro. Eyo Kofuni ne Finekaasi batabani ba Eri gye baawererezanga nga bakabona ba Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omusajja oyo yavanga mu kyalo kye buli mwaka n'agenda e Siiro okusinza n'okuwaayo ssaddaaka eri Mukama ow'eggye. Ne batabani ba Eri bombi, Kofuni ne Finekaasi, bakabona eri Mukama, baali eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli mwaka, Elukaana yavanga mu kibuga ky'ewaabwe n'agenda e Siilo, okusinza n'okuwaayo ebitambiro eri Mukama Nnannyinimagye. Batabani ba Eli bombi, Hofuni ne Finehaasi, be baali bakabona ba Mukama e Siilo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omusajja oyo yavanga mu kyalo kye buli mwaka n'alinnya okusinza n'okuweerayo mu Siiro ssaddaaka eri Mukama ow'eggye. Ne batabani ba Eri bombi, Kofuni ne Finekaasi, bakabona eri Mukama, baali eyo.