1 Samuel 1:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olunaku bwe lwatuukanga Elukana okutambira, ng'awa Peninna mukazi we n'abaana be bonna abalenzi n'abawala emigabo gyabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo olunaku olw’okuwaayo ssaddaaka bwe lwatuuka, Erukaana, n’awa Penina ne batabani be, ne bawala be emigabo egy’ennyama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olunaku bwe lwatuuka Erukaana kwe yaweerangayo ssaddaaka, n'awa Penina mukazi we omugabo gumu, ne batabani be ne bawala be buli omu omugabo gumu gumu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olunaku Elukaana lwe yaweerangayo ekitambiro, yawanga mukazi we Penina n'abaana be abawala n'abalenzi, emigabo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olunaku bwe lwatuuka Erukaana kwe yaweerayo ssaddaaka, n'awa emigabo Penina mukazi we ne batabani be ne bawala be: