1 Samuel 1:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anna yamuwanga omugabo gwa mirundi ebiri kubanga yali muganzi; kyokka Omukama yali tamuwadde kuzaala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Kaana n’amuwa emigabo ebiri kubanga yamwagala nnyo, newaakubadde nga Mukama Katonda yali tamuwadde mwana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye olw'okuba Kaana yamwagala nnyo yamuwanga emigabo ebiri (2), naye Mukama yali aggalidde olubuto lwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Newaakubadde Elukaana yayagalanga nnyo Hanna, yamuwanga omugabo gumu gwokka, kubanga Mukama yali amufudde mugumba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye n'awa Kaana emigabo ebiri: kubanga yamwagala Kaana, naye Mukama yali aggalidde olubuto lwe.