1 Samuel 1:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye muggya we yamusosonkerezanga amukalaze kubanga Omukama yali tamuwadde kuzaala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era kubanga Mukama Katonda yali tamuwadde mwana, muggya we n’amucoccanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Penina muggya we n'amusunguwazanga nnyo n'okumweraliikirizanga, olw'okubanga Mukama yali aggalidde olubuto lwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muggya we yakolanga ebyamusunguwazanga era ne bimunakuwaza nnyo, kubanga Mukama yali amufudde mugumba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muggya we n'amusunguwaza nnyo okumweraliikiriza, kubanga Mukama yali aggalidde olubuto lwe.