1 Samuel 1:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino nga kibaawo buli mwaka; Anna buli lwe yatuukanga okwambuka mu Nnyumba y'Omukama, ng'amunyiiza bw'atyo; Anna n'akaabanga n'emmere n'emulema okulya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyo byabangawo buli mwaka, era bwe baayambukanga okugenda mu yeekaalu ya Mukama, muggya we n’amujoogerezanga okutuusa lwe yakaabanga, n’okulya n’atalya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe kityo bwe kyabanga buli mwaka. Bwe bagendanga mu nnyumba ya Mukama, Penina yasunguwazanga Kaana. Kaana kyeyavanga akaaba amaziga, n'alemwanga n'okulya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe kityo bwe kyabanga buli mwaka. Bwe baagendanga mu nnyumba ya Mukama, Penina yasunguwazanga Hanna. Hanna kyeyavanga akaaba amaziga, n'alemwanga n'okulya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo musajja we bwe yakolanga bw'atyo buli mwaka, ye bwe yalinnyanga okugenda mu nnyumba ya Mukama, n'amusunguwaza bw'atyo; kyeyava akaaba amaziga n'agaana okulya.