1 Samuel 1:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bba Elukana n'amugamba nti: “Anna, okaabira ki? Lwaki tolya mmere? Lwaki omutima gwo gukwennyise? Nze sikusingira baana ekkumi ab'obulenzi?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bba Erukaana n’amubuuza nti, “Kaana, okaabiranga ki? Lwaki tolya? Kiki ekikweraliikiriza? Nze sikusingira abaana ekkumi?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Erukaana bba n'amubuuza nti, “Kaana, okaabira ki? Kiki ekikugaana okulya? N'omutima gwo kiki ekigweraliikiriza? Nze sisinga baana kkumi (10) gy'oli obulungi?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Elukaana bba n'amubuuzanga nti: “Hanna okaabiranga ki era lwaki tolya? Lwaki omutima gwo munakuwavu? Nze sikugasa kusinga baana kkumi ab'obulenzi?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Erukaana musajja we n'amugamba nti Kaana, okaabira ki? kiki ekikulobera okulya? n'omutima gwo kiki ekigweraliikiriza? nze sisinga baana kkumi gy'oli obulungi?