1 Samuel 1:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olumu bwe baamala okulya n'okunywa mu Silo, Anna n'asituka. Eli kabona yali atudde ku ntebe awo ku miryango gy'Ekiggwa ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwali lumu bwe baali bamaze okulya n’okunywa e Siiro, Eri yali atudde ku ntebe okumpi n’omulyango gwa yeekaalu, Kaana n’asituka n’agenda mu maaso ga Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baamala okulya n'okunywa e Siiro, Kaana n'asituka. Mu kiseera ekyo, Eri kabona yali atudde ku ntebe okumpi n'omulyango gwa Yeekaalu ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baamala okulya n'okunywa e Siilo, Hanna n'asituka. Mu kiseera ekyo, Eli kabona yali atudde ku ntebe okumpi n'omulyango gw'Essinzizo lya Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Kaana n'agolokoka nga bamaze okulya mu Siiro, era nga bamaze okunywa. Awo Eri kabona yali ng'atudde ku ntebe ye awaali omufuubeeto ogw'omu yeekaalu ya Mukama.