1 Samuel 10:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samweli n'addira ensale y'omuzigo, n'agumuyiwa ku mutwe, n'amunywegera nga bw'agamba nti: “Omukama akusiize omuzigo obeere omukulembeze w'obusika bwe Yisirayeli. Ggwe onoofuga abantu b'Omukama, obawonye mu mikono gy'abalabe baabwe ababeetoolodde. Kuno kw'onootegeerera nga Katonda akusiize obeere omulangira ku busika bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Samwiri n’addira eccupa ey’amafuta n’agifuka ku mutwe gwa Sawulo, n’amunywegera ng’agamba nti, “ Mukama akufuseeko amafuta okufuga abantu be, Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Samwiri n'addira eccupa y'amafuta n'agafuka ku mutwe gwe n'amunywegera n'ayogera nti, “Mukama si ye akufuseeko amafuta okuba omukulu w'abantu be Abaisiraeri? Era on'ofuga abantu ba Mukama, n'obawonya mu mukono gw'abalabe baabwe. Kano ke kanaabeera akabonero gyoli, akakakasa nti Mukama akufuuseeko amafuta okubeera omulangira w'obusika bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Samweli n'addira akacupa k'omuzigo, n'agufuka ku mutwe gwa Sawulo, n'amunywegera, n'agamba nti: “Mukama takufuseeko omuzigo okuba omukulembeze w'abantu be Abayisirayeli?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Samwiri n'addira eccupa y'amafuta n'agafuka ku mutwe gwe n'amunywegera n'ayogera nti Mukama si ye akufuseeko amafuta okuba omukulu w'obusika bwe?