1 Samuel 10:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaali bamumanyi mu kusooka bwe baamulaba ng'ali n'abalanzi ate ng'alanga, ne bagambagana nti: “Kiki ekigudde ku mutabani wa Kisi? Ne Sawulo ye omu ku balanzi?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaali baamumanya okuva edda n’edda bwe baamulaba ng’awa obunnabbi wamu ne bannabbi, ne bagambagana nti, “Kiki kino ekituuse ku mutabani wa Kiisi? Sawulo naye ali omu ku bannabbi?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka bonna abaamumanyanga edda bwe baamulaba, ng'ayogera ebigambo bya Katonda wamu ne bannabbi, abantu ne bagambagana bokka na bokka nti, “Kiki kino ekituuse ku Sawulo mutabani wa Kiisi? Kaakati naye y'omu ku bannabbi?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bonna abaali bamumanyi okuva edda bwe baamulaba ng'alanga wamu n'abalanzi, ne beebuuzaganya nti: “Kiki ekituuse ku Sawulo mutabani wa Kiisi? Kaakati naye ye omu ku balanzi?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bonna abaamumanyanga edda bwe baamulaba, laba, ng'alagulira wamu ne bannabbi, awo abantu nga bagambagana nti Kiki kino ekimujjiridde mutabani wa Kiisi? ne Sawulo ali mu bannabbi?