1 Samuel 10:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kitaawe wa Sawulo omuto n'abuuza Sawulo n'omuweereza we nti: “Mwagenze wa?” Ne bamwanukula nti: “Kunoonya ndogoyi; bwe tutaazisanze, ne tugenda ewa Samweli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kojja wa Sawulo n’ababuuza ye n’omuweereza nti, “Mubadde wa?” N’addamu nti, “Tubadde tunoonya endogoyi, naye bwe tutaazirabye, ne tugenda eri Samwiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kojja wa Sawulo n'amubuuza ye n'omuddu we nti, “Mwagenda wa?” Sawulo n'amuddamu nti, “Twagenda kunoonya Ndogoyi, bwe zatubula ne tugenda eri Samwiri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kitaawe omuto owa Sawulo n'abuuza Sawulo n'omuweereza we nti: “Mubadde mulaze wa?” Sawulo n'amuddamu nti: “Tubadde tugenze kunoonya ndogoyi. Awo bwe twalabye nga tezizuuse ne tugenda eri Samweli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kojja wa Sawulo n'amugamba ye n'omuddu we nti Mwagenda wa? Naayogera nti Okunoonya endogoyi: awo bwe twalaba nga tezirabise ne tujja eri Samwiri.