1 Samuel 10:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'agamba kitaawe omuto nti: “Yatukakasizza nti endogoyi zaazuuse.” Eby'obwakabaka, Samweli bye yali amugambye, teyabibuulira kitaawe omuto.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo n’addamu nti, “Yatutegeeza nti endogoyi zaali zirabise.” Naye n’atamubuulira Samwiri bye yamugamba ku by’obwakabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo n'agamba kojjaawe nti, “Yatukakasiriza ddala ng'endogoyi bwezaali zirabise.” Naye ebigambo eby'obwakabaka, Samwiri bye yayogera, teyabimubuulirako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo n'agamba kitaawe omuto nti: “Yatukakasirizza ddala nti endogoyi zaalabise.” Kyokka eby'obwakabaka, Samweli bye yayogera, teyabimubuulirako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sawulo n'agamba kojjaawe nti Yatubuulirira ddala ng'endogoyi zirabise. Naye ebigambo eby'obwakabaka, Samwiri bye yayogera, teyabimubuulirako.