1 Samuel 10:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'agamba Abayisirayeli nti: “Kino ky'agamba Omukama Katonda wa Yisirayeli nti: ‘Naggya Yisirayeli mu Misiri, ne mbawonya mu mikono gy'Abamisiri, ne mu mikono gya bakabaka bonna abaababonyaabonyanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Naggya Isirayiri mu Misiri, ne mbalokola okuva mu mukono gw’Abamisiri, ne mu mukono gw’obwakabaka bwonna obwabajooganga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'agamba abaana ba Isiraeri nti, “Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti, ‘nnaggya Isiraeri mu Misiri ne mbalokola mu mukono gw'Abamisiri ne mu mukono gw'obwakabaka bwonna obwabajooganga.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba Abayisirayeli nti: “Mukama Katonda wa Yisirayeli agamba bw'ati nti: ‘Nabaggya e Misiri, ne mbawonya okutuntuzibwa Abamisiri, n'amawanga amalala gonna, agaabajooganga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'agamba bw'atyo abaana ba Isiraeri nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Naggya Isiraeri mu Misiri ne mbalokola mu mukono gw'Abamisiri ne mu mukono gw'obwakabaka bwonna obwabajooganga: