1 Samuel 10:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kati mwemansudde Katonda wammwe oyo eyabanunula mu bubenje bwonna ne mu nnaku zammwe, ne mugamba nti: “Tewali! Ffe tuteerewo kabaka.” Kale nno muyimirire mu maaso g'Omukama, nga mugoberera ebika byammwe n'amasiga gammwe.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kaakano mujeemedde Katonda wammwe eyabalokola okuva mu buyinike bwammwe n’ennaku yammwe, ne mwogera nti, Nedda, tuteerewo kabaka atufuge.’ Kale mweyanjule mu maaso ga Mukama mu bika byammwe ne nnyiriri zammwe nga bwe biri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye leero mugaanyi Katonda wammwe, abalokola yennyini mu nnaku zammwe zonna n'obuyinike bwammwe; era mumugambye nti, ‘Nedda naye ssaawo kabaka atufuge.’ Kale nno kaakano mweyanjule mu maaso ga Mukama ng'ebika byammwe ne nnyumba zammwe bwe ziri, era ng'enkumi zammwe bwe ziri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye olwaleero, muŋŋaanye nze Katonda wammwe abawonya nze kennyini okubonaabona kwammwe kwonna n'obuyinike bwammwe. Era muŋŋambye nti: “Nedda. Naye teekawo kabaka atufuge.” Kale nno kaakano mukuŋŋaane mu maaso ga Mukama, nga muli mu ŋŋanda zammwe, ne mu bika byammwe.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye leero mugaanyi Katonda wammwe, abalokola yennyini mu nnaku zammwe zonna n'obuyinike bwammwe; era mumugambye nti Nedda naye ssaawo kabaka atufuge. Kale nno kaakano mweyanjule mu maaso ga Mukama ng'ebika byammwe bwe biri; era ng'enkumi zammwe bwe ziri.