1 Samuel 10:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'onoova we ndi olwa leero, ojja kusanga abasajja babiri okumpi n'ekiggya kya Rakeli e Zeluza ku nsalo ne Benyamiini. Bajja kukugamba nti: ‘Endogoyi ze wagenda okunoonya, zaazuuse; naye kitaawo alekedde awo okulowooza ku ndogoyi, wabula yeeraliikirira mmwe; abuuza nti: “Nkole ki olw'omwana wange?” ’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’onoova wano leero, onoosisinkana abasajja babiri okumpi n’amalaalo ga Laakeeri, e Zereza ku nsalo ya Benyamini, banaakugamba nti, ‘Endogoyi ze wagenda okunoonya zaalabise. Kitaawo kaakano takyalowooza ku ndogoyi, naye, yeeraliikirira ggwe, nga yeebuuza nti, “Ebya mutabani wange mbikole ntya?” ’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olwaleero bw'onoova wendi onoolaba abasajja babiri abali okumpi na malaalo ga Laakeeri e Zereza mu nsi ya Benyamini; awo bajja kukugamba nti, ‘Endogoyi ze wagenda okunoonya zirabise: era, laba, kitaawo aleseeyo okulowooza endogoyi ne yeeraliikirira ggwe nga agamba nti, N'akola ntya olw'omwana wange?’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwaleero bw'onoova we ndi, ojja kusanga abasajja babiri, nga bali kumpi n'amalaalo ga Raakeeli e Zeluza, mu kitundu kya Benyamiini. Bajja kukubuulira nti endogoyi z'onoonya zirabise, era nti kati kitaawo aleseeyo okulowooza ku ndogoyi, ne yeeraliikirira ggwe, ng'agamba nti: ‘Nnaakola ntya olw'omwana wange?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'onoova gye ndi leero, onoolaba abasajja babiri ku malaalo ga Laakeeri, mu nsalo ya Benyamini e Zereza; awo banaakugamba nti Endogoyi ze wagenda okunoonya zirabise: era, laba, kitaawo aleseeyo okulowooza endogoyi ne yeeraliikirira ggwe ng'ayogera nti Naakola ntya olw'omwana wange?