1 Samuel 10:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samweli bwe yakuŋŋaanya ebika bya Yisirayeli byonna, ekika kya Benyamiini ne kirondebwamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Samwiri bwe yasembeza ebika byonna ebya Isirayiri okumpi ne we yali, ekika kya Benyamini ne kirondebwa na kalulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Samwiri n'asembeza ebika byonna ebya Isiraeri, ekika kya Benyamini ne kirondebwamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Samweli n'asembeza w'ali Ebika byonna ebya Yisirayeli. Ekika kya Benyamiini ne kirondebwamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Samwiri n'asembeza ebika byonna ebya Isiraeri; ekika kya Benyamini ne kitwalibwa.