1 Samuel 10:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekika kya Benyamiini bwe yakissa kyokka mu masiga gaabwe, essiga lya Bamaturi ne lirondebwamu; namwo ne mulondebwamu Sawulo mutabani wa Kisi. Ne bamumagamaga, n'abula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’asembeza ekika kya Benyamini, lunyiriri ku lunyiriri, era olunyiriri lwa Materi ne lulondebwa. N’oluvannyuma Sawulo mutabani wa Kiisi n’alondebwa, naye bwe baamunoonya, nga talabika.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'asembeza ekika kya Benyamini ng'ennyumba zaabwe bwe zaali, ennyumba ey'Abamateri nerondebwa; Sawulo mutabani wa Kiisi naalondebwa; naye ne bamunoonya ne batamulaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Samweli n'asembeza w'ali ennyumba ez'omu Kika kya Benyamiini, ennyumba ya Maturi n'erondebwamu. Awo Samweli n'asembeza w'ali abasajja bonna ab'omu nnyumba ya Maturi. Sawulo mutabani wa Kiisi n'alondebwamu. Ne bamunoonya n'abula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'asembeza ekika kya Benyamini ng'ennyumba zaabwe bwe zaali, ennyumba ey'Abamateri n'etwalibwa: Sawulo mutabani wa Kiisi n'atwalibwa; naye bwe baamunoonya, ne batayinza kumulaba.