1 Samuel 10:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne badduka ne bamuggyayo. Bwe yayimirira mu bantu wakati, ng'asooloobye ku bantu bonna okuva ku kibegabega okudda waggulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne badduka ne bagenda ne bamuleeta. Bwe yayimirira mu bantu, n’aba ng’asinga abantu bonna obuwanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne badduka mbiro ne bamukukunulayo. Awo bwe yayimirira mu bantu, nga abasinga bonna obuwanvu okuva ku bibegabega bye okudda waggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne badduka emisinde ne bamuggyayo. Sawulo bwe yayimirira mu bantu, nga bonna abasinga obuwanvu, okuva ku bibegabega bye, okudda waggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne badduka mbiro ne bamuggyayo; awo bwe yayimirira mu bantu, ng'asinga abantu bonna obuwanvu okuva ku bibegabega bye n'okwambuka.