1 Samuel 10:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samweli n'agamba abantu bonna nti: “Mumulabye omusajja Omukama gw'alonze? Mu bantu bonna tewali amufaanana.” Abantu bonna ne baleekaana nti: “Kabaka awangaale!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Samwiri n’agamba abantu bonna nti, “Mulaba omusajja Mukama gw’alonze? Tewali amwenkana mu bantu bonna.” Abantu ne baddamu n’eddoboozi eddene nti, “Wangaala Kabaka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Samwiri n'agamba abantu bonna nti, “Mulabye oyo Mukama gw'alonze, nga tewali amwenkana mu bantu bonna?” Abantu bonna ne balekanira waggulu nti, “Kabaka abeere omulamu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Samweli n'agamba abantu bonna nti: “Mumulabye oyo Mukama gw'alonze, nga tewali amwenkana mu bantu bonna?” Abantu bonna ne baleekaana nti: “Kabaka awangaale!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Samwiri n'agamba abantu bonna nti Mulabye oyo Mukama gw'alonze, nga tewali amwenkana mu Bantu bonna? Abantu bonna ne boogerera waggulu ne boogera nti Kabaka abeere omulamu.