1 Samuel 10:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samweli n'annyonnyola abantu etteeka ly'obwakabaka, n'aliwandiika mu kitabo n'akissa mu maaso g'Omukama; n'asiibula abantu bonna, buli omu n'adda ewuwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Samwiri n’annyonnyola abantu ebiragiro n’obulombolombo eby’obwakabaka, n’abiwandiika mu kitabo n’akiteeka mu maaso ga Mukama. Awo Samwiri n’asiibula abantu bonna, buli omu n’addayo ewuwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Samwiri n'alyoka abuulira abantu nga obwakabaka bwe bulifaanana, n'abiwandiika, mu kitabo n'akitereka mu maaso ga Mukama. Samwiri n'asiibula buli omu n'addayo ewaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Samweli n'alyoka annyonnyola abantu eby'obwakabaka nga bwe bibeera. N'abiwandiika mu kitabo, n'akitereka mu kifo ekitukuvu. Awo Samweli n'asiibula abantu bonna, buli omu n'addayo ewaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Samwiri n'alyoka abuulira abantu obwakabaka bwe bulifaanana, n'abiwandiika mu kitabo n'akitereka mu maaso ga Mukama. Samwiri n'asindika abantu bonna bagende buli muntu mu nnyumba ye.