1 Samuel 10:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Sawulo n'agenda ewaabwe mu Gibewa; yawerekerwako abasajja abatabaazi Katonda be yali akutteko ku mitima.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo naye n’addayo ewaabwe mu Gibea, ng’awerekerwako abasajja abazira Katonda be yali akomyeko ku mitima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne Sawulo naye n'addayo ewuwe e Gibea; n'agenda n'eggye ly'abasajja abazira, Katonda be yali akute ku mitima gyabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne Sawulo naye n'agenda ewuwe e Gibeya. N'agenda n'abasajja abazira, Katonda be yali aluŋŋamizza emitima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Sawulo naye n'agenda mu nnyumba e Gibea; ne wagenda naye eggye Katonda be yali akomyeko ku mitima gyabwe.