1 Samuel 10:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye abasajja endalagge ne bamugaya nga bagamba nti: “Oyo anaasobola okutununula?” Ne bamunyooma era tebaamuleetera na birabo, naye Sawulo teyanyega kantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abamu ku basajja ab’effujjo ne boogera nti, “Omusajja ono ayinza atya okutulokola?” Ne bamunyooma, era ne batamuwa na birabo. Naye Sawulo n’akisirikira n’atabanyega.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye waliwo abasajja abataliimu nsa ne bagamba nti, “Omusajja oyo alitulokola atya?” Ne bamunyooma ne batamuleetera kirabo. Naye ye n'asirika.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ne wabaawo abasirusiru abaagamba nti: “Omusajja oyo alituwonya?” Ne bamunyooma ne batamuleetera birabo, kyokka ye n'asirika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ne wabaawo abaana ba Beriali abaayogera nti Omusajja oyo alitulokola atya? Ne bamunyooma ne batamuleetera kirabo. Naye ye n'asirika.