1 Samuel 10:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'onoovaawo ne weyongerayo, bw'onootuuka ku muvule Tabori, abasajja basatu bajja kukusisinkana awo nga bambuka eri Omukama mu Beteli; omu ajja kubeera ng'atwala obubuzi busatu, omulala emigaati esatu egy'oluwewere, ate owookusatu ng'atwala endyanga y'evviini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’onoova awo, ne weeyongerayo okutuuka ku mwera gwa Taboli, onoosisinkana abasajja basatu abanaaba bagenda okusisinkana Katonda e Beseri, omu nga yeetisse obubuzi busatu, omulala nga yeetisse emigaati esatu, n’omulala ng’asitudde eccupa y’envinnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Awo onoovaayo ne weeyongerayo mu maaso, okutuusa lw'onootuuka ku muvule oguli e Taboli, gy'onoosanga abasajja basatu, nga bagenda e Beseri okusinza Katonda. Omu ku bo ajja kuba ng'atwala embuzi ento ssatu, n'omulala ng'atwala emigaati esatu, n'omulala ng'atwala ensawo ey'eddiba, ey'omwenge ogw'emizabbibu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo onoovaawo ne weeyongerayo mu maaso, okutuusa lw'onootuuka ku muvule, oguli e Tabori, gy'onoosanga abasajja basatu, nga bagenda e Beteli okusinza Katonda. Omu ku bo ajja kuba ng'atwala embuzi ento ssatu, omulala ng'atwala emigaati esatu, n'omulala ng'atwala ensawo ey'eddiba, ey'omwenge ogw'emizabbibu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo onoovaayo ne weeyongera okugenda mu maaso n'otuuka awali omwera gwa Taboli, onoosiŋŋaanwa eyo abasajja basatu nga bambuka eri Katonda e Beseri, omu ng'atwala abaana b'embuzi basatu, n'omulala ng'atwala emigaati esatu, n'omulala ng'atwala ekita eky'omwenge: