1 Samuel 10:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebyo nga biwedde, ojja kutuuka e Gibewa ekya Katonda, awali enkambi y'Abafilisitiini; bw'onooba oyingira mu kibuga, ojja kusisinkana abalanzi nga bakumba baserengeta nga bava mu kifo ekigulumivu, nga bakuba entongooli, obugoma, ennanga n'okufuuwa endere, era nga bwe balanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’onoova eyo ogenda ku Lusozi lwa Katonda oluliko ekigo eky’Abafirisuuti. Bw’onooba onootera okutuuka ku kibuga, onoosisinkana ekibiina kya bannabbi nga baserengeta okuva mu kifo ekigulumivu nga bakulembeddwamu abakuba entongooli, n’ebitaasa, n’endere, n’ennanga, era nga bawa obunnabbi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo onooyambuka ku lusozi lwa Katonda awali ekigo ky'Abafirisuuti; bw'onoobanga otuuseyo eyo mu kibuga, onoosiŋŋaana ekibiina kya bannabbi nga baserengeta nga bava mu kifo ekigulumivu nga balina entongooli n'ebitaasa n'endere n'ennanga nga bibakulembedde; era banaabanga boogera ebigambo bya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo onooyambuka ku lusozi lwa Katonda, awali olusiisira lw'Abafilistiya. Bw'onooba otuuka mu kibuga, ojja kusanga ekibinja ky'abalanzi, abaserengeta nga bava mu kifo ekigulumivu, nga balanga, era nga bakulembeddwamu ab'entongooli, n'eŋŋoma, n'endere n'ennanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'olyoka otuuka ku lusozi lwa Katonda awali ekigo eky'Abafirisuuti: awo olunaatuuka, bw'onooba ng'otuuse eyo mu kibuga, onoosiŋŋaana ekibiina kya bannabbi nga baserengeta nga bava mu kifo ekigulumivu nga balina entongooli n'ebitaasa n'endere n'ennanga nga bibakulembedde; era banaaba nga balagula: