1 Samuel 10:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwoyo gw'Omukama gujja kukujjako n'amaanyi, naawe olange wamu nabo; ojja kufuuka muntu mulala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwoyo wa Mukama anakukkako mu maanyi, n’owa obunnabbi wamu nabo, era onookyusibwa n’ofuuka omuntu omuggya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omwoyo gwa Mukama gunajja ku ggwe n'amaanyi, naawe n'oyogera ebigambo bya Katonda wamu nabo, era onoofuuka okuba omuntu omulala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mwoyo wa Mukama anaakukkako n'amaanyi, n'ofuuka omuntu omulala, n'olanga wamu nabo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo omwoyo gwa Mukama gunajja ku ggwe n'amaanyi, n'olagulira wamu nabo, n'ofuuka okuba omuntu omulala.