1 Samuel 10:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nkulemberaamu oserengete e Gilugali. Nange nzija kuserengeta nkusange, mpeereze ebitone eby'ebitambiro ebyokye n'eby'okussa ekimu. Kyokka ojja kulindako ennaku musanvu, okutuusa lwe najja gy'oli nkulage ky'onookola.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Serengeta onsookeyo e Girugaali. Nnaakugoberera ne nzija gy’oli okuwaayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, naye oteekwa okunnindako okumala ennaku musanvu okutuusa lwe ndijja gy’oli ne nkutegeeza eky’okukola.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era onoonkulembera okugenda e Girugaali; nange laba, ndijja gy'oli, okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'okusala ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe; ojja kulindiraayo ennaku musanvu ndyoke njije gy'oli nkutegeeze by'oba okola.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ononkulemberamu okugenda e Gilugaali, gye nnaakusanga okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa, n'okutambira ebiweebwayo olw'okutabagana. Ojja kulindirayo ennaku musanvu, ndyoke nzije nkumanyise eky'okukola.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ononkulembera n'oserengeta e Girugaali; nange, laba, ndiserengeta gy'oli, okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'okusala ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe: olimalayo ennaku musanvu ndyoke njije gy'oli nkutegeeze by'oba okola.