1 Samuel 10:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo bwe yakyuka agende, ave awali Samweli, omutima gwe Katonda n'agufuula mulala. Obubonero bwonna bwatuukirira ku olwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sawulo bwe yava eri Samwiri, Katonda n’amuwa omutima omuggya, n’obubonero obwo bwonna ne butuukirira ku lunaku olwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka Sawulo bweyakyuka okuva awali Samwiri, Katonda n'amuwa omutima omulala, obubonero obwo bwonna ne butuukirira ku lunaku olwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Sawulo bwe yakyuka n'akuba Samweli amabega okumuvaako, Katonda n'akyusa Sawulo omutima. Era obubonero obwo bwonna ne butuukirira ku lunaku olwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe yakyusa amabega ge okuva Samwiri w'ali, Katonda n'amuwa omutima omulala: obubonero obwo bwonna ne butuukirira ku lunaku olwo.