1 Samuel 11:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu b'e Yabesi ne bagamba Abammoni nti: “Enkya ku makya tujja kwewaayo mu mikono gyammwe; mutukole kyonna kye mwagala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abatuuze ab’e Yabesi ne bagamba Abamoni nti, “Enkya tujja kwewaayo gye muli, mutukole kye mwagala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu be Yabesi ne batumira Nakkasi ne bamugamba nti, “Enkya tujja kujja gye muli mutukole byonna bye mwagala.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abayabesi kyebaava bagamba Abammoni nti: “Enkya tujja kuvaayo tujje gye muli, mutukoleko byonna bye mwagala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasajja ab'e Yabesi kyebaava boogera nti Enkya tunaafuluma ne tujja gye muli mutukole byonna bye musiima.