1 Samuel 11:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu ne bagamba Samweli nti: “Baani abo abagamba nti: ‘Sawulo y'anaatufuga?’ Mubatuwe tubatte.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abantu ne bagamba Samwiri nti, “Ani eyali abuuza nti, ‘Sawulo alitufuga?’ Mubatuwe tubatte.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu ne babuuza Samwiri nti, “Baani ababuuza nti, ‘Sawulo alitufuga?’ Baleete tubatte.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu ne bagamba Samweli nti: “Baani abagamba nti Sawulo tajja kutufuga? Baleete tubatte.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu ne bagamba Samwiri nti Ani oyo eyayogera nti Sawulo alitufuga? leeta abasajja abo tubatte.