1 Samuel 11:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'agamba nti: “Tewabaawo attibwa olwa leero, kubanga olwa leero Omukama awonyezza Yisirayeli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Sawulo n’addamu nti, “Nedda, tewali muntu anattibwa leero, kubanga olwa leero Mukama alokodde Isirayiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo n'ayogera nti, “Tewaabeewo muntu n'omu anattibwa leero; kubanga Mukama ye yalokodde Isiraeri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Sawulo n'agamba nti: “Tewali n'omu anattibwa olwaleero, kubanga luno lwe lunaku Mukama lw'anunuliddeko Yisirayeli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sawulo n'ayogera nti Tewaabeewo muntu anattibwa leero: kubanga leero Mukama akoze obulokozi mu Isiraeri.