1 Samuel 11:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bonna ne balaga e Gilugali, eyo Sawulo ne bamufuula kabaka mu maaso g'Omukama. Ne batambirirayo ebitambiro eby'okussa ekimu mu maaso g'Omukama. Sawulo n'abantu bonna aba Yisirayeli ne bajaguza nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abantu bonna ne bagenda e Girugaali mu maaso ga Mukama ne bakakasa Sawulo okuba kabaka. Era mu kifo ekyo ne baweerayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe mu maaso ga Mukama, Sawulo n’Abayisirayiri bonna ne basanyuka ne bajaguza nnyo ne bakola n’entujjo ey’amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bonna ne bagenda e Girugaali; Sawulo ne bamufuulira eyo kabaka mu maaso ga Mukama; ne basalira eyo ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe mu maaso ga Mukama; Sawulo n'abasajja bonna aba Isiraeri ne basanyukira nnyo eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna ne bagenda e Gilugaali, era nga bali eyo e Gilugaali mu maaso ga Mukama, ne balangirira Sawulo nti ye kabaka. Ne batambira ebitambiro eby'ekiweebwayo mu maaso ga Mukama olw'okutabagana. Era eyo Sawulo n'abantu bonna ne bajagulizaayo nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu bonna ne bagenda e Girugaali; Sawulo ne bamufuulira eyo kabaka mu maaso ga Mukama e Girugaali; ne basalira eyo ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe mu maaso ga Mukama; Sawulo n'abasajja bonna aba Isiraeri ne basanyukira nnyo eyo.