1 Samuel 11:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nakasi Omwammoni n'abaanukula nti: “Kano ke kakalu k'endagaano: mwenna nzija kubanokolamu buli omu eriiso erya ddyo, nswaze bwe ntyo Yisirayeli yenna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Nakkasi Omwamoni n’abaddamu nti, “Sijja kukola nammwe ndagaano okuggyako nga munzikirizza okuggya mu buli muntu, eriiso lye erya ddyo, olwo nswaze Isirayiri yenna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nakkasi Omwamoni n'abagamba nti, “Nja kulagaana nammwe endagaano, singa mukkiriza okubajjamu amaaso gammwe gonna aga ddyo; ndyoke nfuule Isiraeri ekivume.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nahasi Omwammoni n'abagamba nti: “Nja kukola nammwe endagaano, bwe munakkiriza okubaggyamu amaaso gammwe gonna aga ddyo, ndyoke nfuule Yisirayeli yonna ekyenyinyalwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nakkasi Omwamoni n'abagamba nti Bwe ntyo bwe nnaalagaana nammwe, amaaso gammwe gonna aga ddyo gaggibwemu; nange ndikiteeka ku Isiraeri yenna okuba ekivume.