1 Samuel 11:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ababaka ne bajja mu Gibewa ekya Sawulo, ne babuulira abantu obukalu obuteereddwawo. Abantu bonna ne baleekaana, ne bakaaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ababaka bwe baatuuka e Gibea ewa Sawulo, ne bategeeza abantu ebigambo ebyo; bwe baabiwulira bonna ne bakuba ebiwoobe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ababaka ne bagenda e Gibea ekya Sawulo ne bategeeza abantu ebigambo ebyo byonna; awo abantu bonna ne bayimusa eddoboozi lyabwe ne bakaaba amaziga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ababaka bwe baatuuka e Gibeya ekya Sawulo, ne babuulira abantu ebigambo ebyo. Awo abantu bonna ne batema emiranga ne bakaaba amaziga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ababaka ne bajja e Gibea ekya Sawulo ne boogerera ebigambo ebyo mu matu g'abantu: awo abantu bonna ne bayimusa eddoboozi lyabwe ne bakaaba amaziga.