1 Samuel 11:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kadde ako kennyini Sawulo yali ava mu nnimiro ng'ajja agoba ente ezirima; n'abuuza nti: “Abantu babadde ki abakaaba?” Ne bamubuulira ebigambo by'ababaka b'e Yabesi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo Sawulo yali ava mu nnimiro ng’agoberera ente ze ezirima, n’abuuza nti, “Abantu babadde ki? Kiki ekibakaabya?” Ne bamutegeeza obubaka abasajja ab’e Yabesi bwe baali baleese.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sawulo n'ajja nga ava mu nnimiro nga agoba ente; n'abuuza nti, “Abantu babadde ki, lwaki bakaaba amaziga?” Ne bamubuulira ebigambo by'abasajja abavudde e Yabesi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo yali ava mu nnimiro, ng'ajja agoba ente, n'abuuza nti: “Abantu babadde ki? Lwaki bakaaba amaziga?” Ne bamubuulira ebigambo eby'abasajja abavudde e Yabesi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo, laba, Sawulo n'ajja ng'agoberera ente okuva mu nnimiro; Sawulo n'ayogera nti Abantu babadde batya okukaaba amaziga? Ne bamubuulira ebigambo by'abasajja ab'e Yabesi.