1 Samuel 11:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'akwata omugogo gw'ente n'azitemaatema ebifi, n'atuma ababaka babituuse mu bitundu byonna ebya Yisirayeli n'obubaka nti: “Buli yenna ataaveeyo kugoberera Sawulo ne Samweli, ente ze bwe zinaakolebwa ziti.” Entiisa y'Omukama n'ekwata abantu, bonna ne bavaayo ng'omuntu omu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’addira ente bbiri, n’azitemaatema, n’aziwa ababaka ne bazitwala okubuna ensi yonna eya Isirayiri ng’agamba nti, “Buli ataagoberere Sawulo ne Samwiri, ente ze ezirima bwe zityo bwe zinaakolebwa.” Entiisa ya Mukama n’egwa ku bantu, ne bakuŋŋaana wamu n’omutima gumu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sawulo n'addira ente bbiri (2) n'azitematemamu ebitundu n'abiwa ababaka, ne babitwala wonna mu Isiraeri nga bagamba nti, “ Buli atalifuluma okugoberera Sawulo ne Samwiri, bwe zityo ente ze bwe zirikolebwa.” Ekitiibwa kya Mukama ne kigwa ku bantu, ne bafuluma ng'omuntu omu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'addira ente bbiri, n'azitemaatemamu ebitundu n'abiwa ababaka babitwale wonna mu Yisirayeli nga bagamba abantu nti: “Buli ataaveeyo kugoberera Sawulo ne Samweli, ente ze za kutemwatemwa bwe zityo.” Mukama n'akuba abantu entiisa, ne bavaayo nga bali bumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'addira ente bbiri n'azitematema n'aziweereza okubuna ensalo zonna eza Isiraeri mu mikono gy'ababaka ng'ayogera nti Buli atalifuluma okugoberera Sawulo ne Samwiri, bwe zityo ente ze bwe zirikolebwa. Ekitiibwa kya Mukama ne kigwa ku bantu, ne bafuluma ng'omuntu omu.