1 Samuel 11:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yabalambula e Bezeki, abaali bavudde mu Yisirayeli baali obusiriivu busatu, ate abavudde mu Yuda emitwalo esatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo n’ababalira e Bezeki, abasajja abaava mu Isirayiri nga bawera emitwalo amakumi asatu, n’abaava mu Yuda ne bawera emitwalo esatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ababalira e Bezeki; abava mu Isiraeri baali obusiriivu busatu (300,000), n'abaava mu Yuda baali emitwalo esatu (30,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo n'ababalira e Bezeki. Abaava mu Yisirayeli baali emitwalo amakumi asatu, n'abaava mu Buyudaaya baali emitwalo esatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ababalira e Bezeki; awo abaana ba Isiraeri baali obusiriivu busatu, n'abasajja ba Yuda baali obukumi busatu.