1 Samuel 11:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bagamba ababaka abaali bazze nti: “Mugambe abantu b'omu Yabesi-Gileyaadi nti: ‘Enkya, obudde we bunaakaalamira, mujja kubeera nga mununuddwa.’ ” Ababaka ne bagenda ne babuulira abantu b'e Yabesi, nabo ne basanyuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bagamba ababaka abaali bazze nti, “Mutegeeze abasajja ab’e Yabesugireyaadi nti, ‘Obudde we bunaatuukira mu ssaawa ez’omu ttuntu, munaaba mulokolebbwa.’ ” Ababaka bwe bazzaayo obubaka obwo e Yabesi, abatuuze baayo ne bassa ekikkowe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bagamba ababaka nti, “Mugambe abantu ab'e Yabesugireyaadi nti, ‘Enkya, omusana nga gwase, munaafuna obulokozi.’ ” Ababaka ne bagenda ne babuulira abantu be Yabesi ebigambo ebyo ne basanyuka nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bagamba ababaka abajja nti: “Mugambe abantu b'e Yabesi Gileyaadi nti: ‘Enkya ng'omusana gwase, mujja kununulwa.’ ” Ababaka ne bagenda ne bategeeza Abayabesi, Abayabesi ne basanyuka!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bagamba ababaka abajja nti Bwe mutyo bwe munaagamba abasajja ab'e Yabesugireyaadi nti Enkya, omusana nga gwase, munaafuna obulokozi. Ababaka ne bajja ne babuulira abasajja ab'e Yabesi; ne basanyuka.