1 Samuel 12:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samweli yagamba Yisirayeli yenna nti: “Mpulirizza byonna bye mwaŋŋamba, ne mbateerawo kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Samwiri n’ayogera eri Isirayiri yenna, ng’agamba nti, “Mpulirizza buli kintu kye muŋŋambye, ne mbateerawo kabaka okubafuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Samwiri n'agamba Isiraeri yenna nti, “Laba; mpulidde eddoboozi lyammwe mu byonna bye mwaŋŋamba, era ntaddewo kabaka okubafuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Samweli n'agamba Abayisirayeli bonna nti: “Mpulirizza byonna bye muŋŋamba, era mbateereddewo kabaka ow'okubafuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Samwiri n'agamba Isiraeri yenna nti Laba, mpulidde eddoboozi lyammwe mu byonna bye mwaŋŋamba, era nkoze kabaka okubafuga.