1 Samuel 12:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma baalaajanira Omukama ne bagamba nti: ‘Tukoze ekibi, kubanga tulese Omukama ne tuweereza Babaali ne Baasutoreti; naye kati tununule mu mikono gy'abalabe baffe, tujja kukuweereza.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayisirayiri ne bakaabirira Mukama, nga boogera nti, ‘Twasobya, twava ku Mukama ne tuweereza Babaali ne Baasutoleesi. Naye kaakano tulokole okuva mu mukono gw’abalabe baffe, tunaakuweerezanga.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne bakaabira Mukama ne boogera nti, ‘Twayonoona kubanga twaleka Mukama ne tuweereza Babaali ne Baasutaloosi; naye kaakano tulokole mu mukono gw'abalabe baffe, tulyoke tukuweereze.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bajjajjammwe ne bakaabirira Mukama, ne bagamba nti: ‘Twakola ebibi, kubanga twalekawo Mukama, ne tuweereza balubaale Baali ne Asitarooti. Naye kaakano tukwegayiridde otuwonye abalabe baffe, kale tunaakuweerezanga.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bakaabira Mukama ne boogera nti Twayonoona kubanga twaleka Mukama ne tuweereza Babaali ne Baasutaloosi; naye kaakano tulokole mu mukono gw'abalabe baffe, tulyoke tukuweereze.